Omuyimbi Mamuli Katumba acamudde abawagizi be ku siteegi ne bamufuuwa ssente

ABADIGIZE e Lukaya mu Kalungu bacamuse okukira ppaasi eri mu masannyalaze nga balaga essanyu ly'okuddamu okulaba ku muyimbi Mamuli Katumba ng'abayimbira ku siteegi.

Omuyimbi Mamuli Katumba acamudde abawagizi be ku siteegi ne bamufuuwa ssente
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Mamuli Katumba #Lukaya #Kadongokamu

Wadde nga COVID-19 amaze emyaka ebiri ng'agazizzaawo ebivvulu kyokka ye Mamuli bukya alwala n'akoma ku mugo gw'entaana atutte ebbanga nga tayimbirako Lukaya.

Kino kyawedde abawagizi be essanyu nga bazzeemu okumulabako ne bamufuuwa ssente ayongere okwejjanjabisa.

Mamuli Katumba yaggyidde mu bbandi ya Vision Hero eya Mathias Walukagga mu Nana Hotel e Lukaya mu Kalungu.

Katumba yeebazizza Katonda akyamulekedde obulamu n'eddoboozi n'agamba nti tajulirira eky'okufiirwa ebirala ng'ekyamaanyi agamegganga ebigwo nga kati ebyana abitunuulira nga mbuzi ndaawo n'awulira ensaalwa mu mutima.

Yasuubizza abawagizi be nti agenda kkozesa eddoboozi abayimbire ebibasanyusa n'okubazimba ne yeewuunya abakazi abaali bamummye abaana ng'ali mu kkoma nga olwafunyeemu olungubanguba ate ne babakomyawo kwe kubakubamu oluyimba.

Omukazi ngawaga olwa Mamuli Katumba e Lukaya mu Kalungu

Abawagizi ba Mamuli Katumba nga bamufuuwa ssente ku siteegi

Abawagizi ba Mamuli Katumba nga bamufuuwa ssente ku siteegi