Mamuli Katumba acamudde abadigize ku Kaleerwe nabo ne bamulaga okwagala kyokka kimuweddeko om uku badigize bw’azze ku siteegi okuzina naye, n’amukunamira naye n’akiggyamu enjawulo.
Ono avuddeyo anyeenya mutwe nga embuzi etenda enkuba n’avaayo ng'anyeenya mutwe ng'agamba ab'oku Kaleerwe bulijjo bwe mutyo.
Bano Omuziki Gwabayingidde Ne Babiibya Ku Galibenjole.
Abadigize baacakalidde ku bbaala ya M DE BOSS mu Dobi Zzooni ku Kaleerwe e Kawempe mu kivvulu ekyategekeddwa Ssenga Sarah Nansasi omuyimbi wa kadongo Kamu.
Ssenga Sarah Nansasi Ndibassa Ng'ayimba.
Kino kyatuumiddwa ‘obufumbo si Finger ‘ ng'abamu ku bayimbi abaacamudde abadigize kwe kwabadde ne Mamuli Katumba ng'ono olwayiyeemu oluyimba lwa basajja abaagala ebyendola byana biwala ne bimusalako ne bizina nga bimulaga ebyensuti.
Abayimbi abalala abaacamudde abadigize kwabaddeko Fatumah Namakula , Meddie Kasujja , Rashid Luwagga , Muzeeyi Katula n'abalala.
Mwana Muwala Ng'agezaako Okukuba Mamuli Katumba Ekyensuti!