OMULERE gutuuyanyizza Afande.
Baabadde ku mukolo gw’okufulumya abaserikale e Bwebajja era bandi ya poliisi yabaddewo ng’ekuba ennyimba okubeesabeesa abaabadde ku mukolo.
Baakubye ennyimba nga bwe bafuuwa emirere era ono ye yatuuyanye okulaga nti ddala okufuuwa omulere si muzannyo.