Musundamata ndyose ne nkusanga, wamma liita y’amata kati eri ku mmeka ewammwe eyo?
Oyogera nange mukwano oba mpulidde bubi.
Leka kwebuzaabuza munnange, wano abawala abalungi abanywa amata ne bagakkuta olabawo bameka?
Haahaha... awo ompaayirizza kuba ffe twakulira ku kawunga ka muwogo n’ebyennyanja.
Ky’ogamba akawunga ka muwogo kasobola okunyiriza omuntu n’afaanana nga Malayika ava mu ggulu?
Era n’oweewange mwami Mulere Sadrack we yanneegombera.
Mbu kati onneesoose mangu nneme kukugamba bigambo byange nti onkubye njagala kukuwasa?
Otuuse buyise mukwano kuba nze gw’oliko ndi mufumbo wa mpeta nnina n’abaana.
Kye nzudde olabika oli Mulokole, kati bw’ombuulira emyaka gyo emituufu nga nkwesonyiwa?
Nnina 32 sisobola kwegaana.
Omubiri oguliisaaki ekikulabisa nga ‘sweet 16’?
Okulya akawunga ka muwogo ngattako okulya akawunga k’akasooli n’ennyama y’embuzi ne nshanana.
Mpozzi wangambye ggwe ani, nzijukizaamu katono?
Nze Kussy Ruth Muggulu.
Wabula kirabika mukulu Mulere takuganya kubaako kye weekolera talina gakukaddiya?
Nkola gwa kuyooyota nsusu z’abakyala. Buli mukyala asaanye n’abaamu n’akasente ke yeekolera.
Naye lwaki ggwe teweeyisa nga bawala banno abalungi be tubabuzaako ne batusooza n’okutuziimuula?
Nze nakuzibwa bulungi eri omwami Kiiza John Muggulu ne maama Justine Masika ab’e Kaseese.
Wamma mpaayo omuze gumu mwami Mulere gwe yalina nga gukusuza okukunadde?
Yalinga akuba nnyo obubaga nga tantwala ng’ate kinnuma.
Ye muze ki ggwe yalwanyisa ogwali gwakukuliramu n’agukugobamu?
Nalinga mulalu nnyo nga njagala nnyo ebyokuyimba ng’ate ye tabyagala.
Mu nsobi zonna abawala ze bakola mu bufumbo, ggwe nsobi ki gye walayira nti toligikola ne bwe kiriba ki?
Kwe kusembereza mikwano gyange omwami wange, ekyo ne bwe ndiba mulwadde sirikikola.
Kiki ekisinga okukunyiiza omuntu ayagala okubeera mukwano gwo ky’alina okwewala?
Omuntu eyeefuula mukwano gwange ng’ate by’akola tebikiraga.
Munnange nze njagadde nnyo emimwa gyo, omukulu ye agamba kiki ky’asinga okwagala ku mubiri gwo?
Ayagala nnyo amaaso gange.
Mu birabo byonna mwami Mulera bye yali akuwadde, kirabo ki ekikize ku byonna ?
Ekirabo ky’okufukamira n’anteekako akaweta n’ansaba obufumbo tewannabaawo kikimenyawo.
Kati ggwe ng’omuwala eyatuuzibwa ng’agenda okufumbirwa, wamuwa kirabo ki ekikyasinze okumucamula?
Namuzaalirayo obuwala bubiri okuli; Nadia ne Skyle.