Kasalabecca

Absolute Tonny, kafulu mu kufuuwa omulere asabuukuludde 'album' enzito

MWANA mulenzi Absolute Tonny kafulu mu kufuuwa omulere nga amannya amatuufu ye Tonny Musaazi aleese 'album' empya gy'atumye Being Loved.

Absolute Tonny, kafulu mu kufuuwa omulere asabuukuludde 'album' enzito
By: Mary Nambwayo, Journalists @New Vision
MWANA mulenzi Absolute Tonny kafulu mu kufuuwa omulere nga amannya amatuufu ye Tonny Musaazi aleese 'album' empya gy'atumye Being Loved.
 
Eno agitaddemu obujogoli nga ezimu ku nnyimba yazikoze ne bannansi ba South Afrika.
 
Mu lukung'ana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku Bight of Benin Hotel, Tonny yategeezezza nti Bannayuganda beesuneko kuba 'album' eno agiwadde obudde obumala , obuyimba obuliko buwoomu okuzaama ate bwonna bwa kufuuwa mulere.
 
Tonny ng'ayogera n'abaamawulire

Tonny ng'ayogera n'abaamawulire

 
Tonny kafulu mu kufuuwa omulere abadde amanyiddwa nnyo mu kuddamu enn'yimba zabayimbi abalala nga afuuwa mulele ng'ezimu ku zeyaddamu kuliko eza Winnie Nwagi.
 
Ono nategeezezza nti kati akuze, eby'okuddamu ennyimba z'abalala yabitadde amaanyi n'agamalira mu kukola ezize kubanga omuyimbi bamubalira nnyo ku nnyimba ze.z'akoze, so ssi okuddamu ez'abalala.
 
Wabula asabye abantu bagale nnyo enyimba zino ezebivuga nga ye zakoola ezomulere kubanga zikakanya omwoyo ate baveemu enjogera egamba nti enyimba zino zabagagga kubanga n'omuntu wawansi nga yaziwadde obudde era zimunyumira.
 
Tonny2

Tonny2

Tags: