Winnie Nwagi acoomedde abamalako bassereebu emirembe olw’emyaka

WINNIE Nwagi acoomedde abamalako bassereebu emirembe olw’emyaka. Agamba nti ye kimunyiiza olw’abantu aboogerera bassereebu naddala abakazi nti bakuliridde mu myaka ekiviirako n’abamu okutya okwogera emyaka gyabwe.

Winnie Nwagi acoomedde abamalako bassereebu emirembe olw’emyaka
NewVision Reporter
@NewVision
#Kasalabecca #Myaka #Bassereebu #Mirembe

WINNIE Nwagi acoomedde abamalako bassereebu emirembe olw’emyaka. Agamba nti ye kimunyiiza olw’abantu aboogerera bassereebu naddala abakazi nti bakuliridde mu myaka ekiviirako n’abamu okutya okwogera emyaka gyabwe.

Nwagi akolimye nti n’abeeyita abato nabo bajja. Ayongerako nti ye buli mwaka gw’agutuukako agujaguza kuba akimanyi abamu bafa nga tebagituuseeko. Okumanya yabadde mukaawu, agamba nti abayimbi abatuuka mu myaka 30 bakoma okwogera emyaka gyabwe nga bakiraba nga ekintu ekiswaza.

Yasabye abantu obutakaka balala kufumbirwa kuba buli omu alina obudde bwe bw’akoleramu ekintu.

Login to begin your journey to our premium content