Asambazze ebyogerwa b'ayise abalyolyomi nti mu butamwagaliza bawuddiisa abawagizi be ng'akokunywa bw'akabagulira mu biseera by'okubanoonyamu akalulu.
9b252145 3848 4470 A907 8a35e24fe892
Omubaka Namuju abakuddaalidde nti boogeza ku nnugu kuba buli lw'ajja mu balonzi ateekwa okubawa ku ssente ne balyako.
"Nammwe ab'e Kenseenene mukwate gino emitwalo 20 ssi za kugulamu masefuliya kuba go nnagabawa dda naye mugulemu sooda mwennywere", Namuju bw'akaatirizza.
B2d276c5 79df 4e1a 8e72 Cc92c8ec33de