Sweet Sheee, kulikayo e Bungereza
Omuntu omu Kasuku, yekka y’ampita erinnya eryo, ggwe ate waliggye wa?
Anti yang'ambye bwe mbeera njagala okukusanyusa ndikuyite....
Era singa mbadde nninamu, nandikwokyezzaayo..
Ky’ogamba e Bungereza tewaffisizzaawo wadde ekikumi...
Nasigazzaamu naye si zaakugabira buli omu..
Tewali mukodo oba kiki ekyakutuukako?
Nnina eby’amukulu kati bye nkola era bye bizitwala.
Ozimba guloofa? Anti munno Katrina yatulaga ennyumba.
Katrina kati wano aggyiramu wa?
Mwali ba mikwano kati muli kabwa na ngo, ye kiki ekyabatabula?
Weesonyiwe entalo z’abakazi muganda wange.
Abakazi basinga kulwanira basajja, ka nsuubire si bwe guli...
Si bwe kiri kuba nze siri wa tugabane.
Waliwo ebitambula mbu wafunye omusajja omulala!
Wabula ndabye n’abantu.. Kati olwo...
Mbu era akabaga ke wasemba okutegeka aka ‘Range Rover’ ye yassaamu omusimbi ne gutokomoka!
Naye nange nkola ssente zange lwaki mulowooza za musajja?
Anti era byatambula mbu waliwo omunene eyagikugulira
Bajja kubasibira bwereere. Bye mutamanyi mubireke...
Kati ye Abryanz omuyita otya kuba ekyammwe mmwembi kisusse..
Oyo mukwano gwange fa nfe ky’ova olaba buli wamu mbeera naye.
Simanyi ggwe ne kitaawo kati mwogerezaganya bulungi...
Tewandaba ku mukolo gwe nga bamwanjula? Nga nneetala...
Maama muto naye ndaba mukwatagana...
Simulinaako buzibu, mukyala mulungi.
Nga tumaririza, mbu naawe kati wafuuka DJ era otakula ekyuma?
Buli kimu nnina okukikola nga nkyali muto..
Naye abantu bagamba obatiisa tosobola kutakula kyuma.
Abo basusi b’amenvu, nabamanyiira..