Kasalabecca

Mudra kati omuziki agukubira mu baana ba ssomero

Twamuguddeko ku St. Gyaviira High School e Mwera mu Kakiri ng’asanyusa bayizi ku kabaga kaabwe.

Mudra kati omuziki agukubira mu baana ba ssomero
By: Musasi Bukedde, Journalist @New Vision

OMUYIMBI Alfa Ssebunya amanyiddwa nga Mudra, yacaaka nnyo n’akayimba aka muyaayu mu 2022.

 

Twamuguddeko ku St. Gyaviira High School e Mwera mu Kakiri ng’asanyusa bayizi ku kabaga kaabwe.

 

Ku kayimba ka Muyaayu akaamutunda, yayimbayo n’aka, Balo Balo, Tokola Error nabwo obwanyumira abantu. Kati akuba ‘Promo Party’ wadde ng’abamu ku bawagizi be bamwebuuza.

 

 Ku kabaga, yeefuumudde n’ayimba ennyimba eziwera okuli; okuli, Onkosa, The Best, Tokola Error, Balo Balo, Ayi, Kimuli Kyange bwe yamaze n’asaba ‘abaana’ okumanya ekyabatwala ku ssomero wadde ng’abaafunye ku budde okwesanyusaamu ne booca n’emicomo.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Ssomero
muziki
Mudra
Kukuba
Muziki