Kasalabecca

Levixone alazeeyo Desire Luzinda ewa nnyina

OLUGAMBO luludde nga lutambula nti omuyimbi Levixone alina enkolagana ey’enjawulo ne Desire Luzinda. 

Levixone alazeeyo Desire Luzinda ewa nnyina
By: Musa Ssemwanga, Journalist @New Vision

OLUGAMBO luludde nga lutambula nti omuyimbi Levixone alina enkolagana ey’enjawulo ne Desire Luzinda. 

Waliwo n’ebifaananyi ebyasaasaana ng’ababiri bano balinga abakoze omukolo ogw’okwanjula wadde kyeyoleka nti yali vidiyo ya luyimba.

Wiiki ewedde, Desire olwatonnye mu ggwanga okuva mu America, yagenze e Mbarara

ewaabadde ekivvulu kya Levixone, n’ayimba. 

Oluvannyuma yamukutte, n’amwanjula eri nnyina era mbu ensisinkano eno yavuddemu ebibala.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Levixone
Desire
Lugambo
Kulaga
Nnyina