Kasalabecca

Kuluthum atongozza empaka z’omupiira okujjukira Muzaata

KU Ssande e Kigoogwa mu disitulikiti y’e Wakiso, waabaddeyo dduwa y’okujjukira nga bwe giweze emyaka 3 bukya Shiekh Noor Muzaata afa.

Kuluthum atongozza empaka z’omupiira okujjukira Muzaata
By: Musa Ssemwanga, Journalist @New Vision

KU Ssande e Kigoogwa mu disitulikiti y’e Wakiso, waabaddeyo dduwa y’okujjukira nga bwe giweze emyaka 3 bukya Shiekh Noor Muzaata afa.

Eno, eyali Namwandu Kulthum Nabunnya teyabaddeyo era eggulo ku Lwokubiri lwe yakoze dduwa y’eyali bba nga yagitadde mu maka ge Kawempe.

Hajjati Kulthum yeebazizza abantu abamubeereddewo bukya afiirwa bba era be yeebazizza mwabaddemu; Hajji Abdul Yiga, Sheikh Idris Kayiwa ne Acram Gumisiriza, ng’ono ye bba kati. Era, abantu abeesozze Obusiraamu baayanjuddwa ne bagamba nti ebigambo by’omugenzi Sheikh Muzaata bye byabasikiriza okuyingira Obusiraamu.

Ku mukolo gwe gumu, kwe yatolongolezza empaka z’omupiira okujjukira omugenzi Muzaata nga zaakwetabamu emizikiti egy’enjawulo mu Kawempe.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Shiekh Noor Muzaata
Namwandu Kulthum Nabunnya