Kenzo ne Dr Hamza bazzeemu okusirisa ababitebya nti tebakwatagana

Dr. Hamza ne Kenzo bazzeemu okwegwa mu bifuba ne basirisa ababitebya nti tebakwatagana

Kenzo ne Dr Hamza bazzeemu okusirisa ababitebya nti tebakwatagana
By Grace Namatovu
Journalists @New Vision
#Namakula #Kusirisa #Mimwa #Kivvulu #Halima

Dr. Hamza ne Kenzo bazzeemu okwegwa mu bifuba ne basirisa ababitebya nti tebakwatagana

Omuyimbi Eddy Kenzo azzeemu nate okusisinkana Dr. Hamza Ssebunnya, bba wa Rema Namakula, n’asirisa ababijweteka nti ye ne dokitaali bali kabwa na ngo olw’omukazi.

Kenzo Ne Hamza Lwe Baasisinkana Era Gye Buvuddeko

Kenzo Ne Hamza Lwe Baasisinkana Era Gye Buvuddeko

Bano baasisinkanidde mu kivvulu kya maama Halima Namakula bwe yabadde ajaguza emyaka 50 mu nsiike y’okuyimba ku wooteeri ya Serena wali mu Kampala.

Mu kivvulu kino, Dr. Hamza yayimuse n’agenda ku siteegi Kenzo kwe yabadde ayimiridde, nga musanyufu ddala, n’amugwa mu kifuba.

Bino byonna byabadde bigenda mu maaso nga Rema atudde mu bagenyi abayite nga bw’amwenya, olwo maama we, Halima n’alyoka amugamba nti ‘Namakula nkulaba’, ekibiina ky’abantu kyonna ne kisaanuuka enseko nga bwe kiwaga.

Ababiri bano bulijjo abagambibwa okuba akabwa n’engo olw’okuba baayagala ku mukazi omu, babaddenga basambajja ebijja byogerwa era nga bagamba tebaliimu mbeera yonna ya kwewalana.

Kenzo yategeezeezza era nti ye talina mbiranye yonna eri Hamza ne Rema era abaagaliza birungi byereere. Ediriisa Musuuza era yasiimye maama Halima Namakula olw’okubeera omuzadde omulungi gye bali ne Rema.

Yagambye nti omuntu gwe wali oyagaddeko ne mwawukana kisaanye ojjukire akaseera akalungi ke mwafuna nga muli mwenna naddala bwe muba mwazaaliramu n’abaana kubanga omuntu oyo asigala mu bulamu bwo. Yasiimye maama Halima olw’okubatabaganyanga n’okuba omuzadde omulungi era omuvumu gye bali.