OMUYIMBI w’ennyimba z’eddiini Joseph Ngoma yeevuddemu n’alumba abadigize mu kivvulu, ky’abadde takolangako, n’abakuba endongo ya Yesu okukkakkana ng’abasudde mu mwoyo.
Ngoma Ng'ayimbira Abantu E Bugoloobi.
Ngoma yabadde ku Silver Springs e Bugoloobi wabula yeewuunyisizza abadigize kubanga abadde tamanyikiddwa mu kuyimba mu bivvulu bya nsi.
Wabuala abantu baalaze ennyonta y’endongo ya Yesu era bangi baalabikiddwako nga bawanise emikono n’okukkakkana mu ngeri y’okugenda ebuziba wadde nga baabadde wakati mu kivvulu ky’ensi nga n’abamu baabadde baataddeko dda amazzi ku mitwe.
Ngoma yayimbye ennyimba ze okwabadde Kamberenga naye , Nze tombuulira mulala, Gwe byonna , Nteeseza n’endala era oluvannyuma yasabidde abantu.