Hellen Lukoma ayambalidde Kataleya ne Kandle ku by’okumugamba nti talina ‘waaka’ gw’alaga ku myaka “10” gy’amaze mu kuyimba
Mwana muwala Hellen Lukoma, nnannyini Range Rover, manya Queen, maama Ark, eyalayira okufumba ku nku oba ku manda ategeezezza nti ye talwana ntalo ate tazaagala kuba tezizimba.
Hellen Lukoma Ng'anyumidde Akateeteeyi.
Bino bizze oluvannyuma lwa baana bawala abayimba ababiri, Kataleya ne Kandle okutegeeza nti ebbanga ery’emyaka 10 Lukoma ly’ayimbidde, talina muziki gw’alagawo, kyokka bo abayimbidde emyaka 2 n’ekitundu balina omuziki era abantu bagumanyi.
Kataleya ne Kandle bwe baali ku yintaayivu emu ne Musa Ssemwanga owa Bukedde TV nga baanukula ebyali bigambibwa nti abanutu tebabamanyi, baategeeza nti balina ennyimba ze balagawo era waaka waabwe abantu bamulaba era yeeyogerera.
Kandle yayongeddeko n’agamba nti ye (Lukoma) bwe kiba nga ebibye eby’okuyimba ne munne mu HB Toxic mu biseera bye baaliwo byagaana, tekitegeeza nti n’ebyabwe bijja kugaana.
Kataleya Ne Kandle Mu Biseera Byabwe Eby'eddembe.
Baasabye abayimbi abaabasookawo babalung’amye n’okubawabula so si kuboogerera kubanga nti omukisa gw’embuzi si gw’egwembwa.
Kyokka kigambibwa nti kalumanywera ono yenna yatandikidde ku yintaaviyu emu Lukoma gye yakoze ng’ategeeza nti ye talina magezi gonna g’ayinza kuwa Kataleya ne Kandle kubanga ye takyayimbira mu ‘duo’ wabula ayimba nga ssekinnoomu.
Yeetondedde Kandle n’amusaba amusonyiwe yintaaviyu eno gye yakola bw’eba teyamutangaalira bulungi era n’akikkaatiriza nti tayagala ntalo na muntu yenna.