FRANK Gashumba atabukidde abamuwalampa nti yawasizza omuwala muto Patience Mutoni Malaika.
Aboogera ebyo, Gashumba abagambye banuune ku vvu kuba omukazi gwe yafunye, mukulu okusinziira ku mateeka g’eggwanga bwe galagira n’ababuuza nti oba, baabadde baagala awase Nandujja.
Gashumba Ne Mutoni Gwe Yawasizza.
Agamba nti ate abasinga okuboogerera, ba bufumbo bwalema. Ku by’okumugamba nti omuwala gwe yafunye muto ajja kumukutula omugongo, yabaanukudde nti ye mulamu nnyo n’okusinga abavubuka abamu mu Kampala.