Amawulire

Fr. Tamale akunze abaasomerako e Kisoga obutasuulirira ssomero lyabwe

Ssentebe wa bboodi etwala essomero lya Klezia erya St. Balikuddembe S.S e Kisoga mu disitulikiti y’e Mukono Fr. Lawrence Tamale akunze abaasomerako mu ssomero lino obutalisuulirira wabula baddeyo balabe bwe baliyamba okwongera okwekulaakulanya n’okulitwala mu maaso

Okuva ku kkono; Aguma, Fr. Stephen Gita, capuleyini w'essomero, Lydia Lukwago omukulu w'essomero, Fr. Tamale n'abalala nga basala keeki
By: Saul Wokulira, Journalist @New Vision

Ssentebe wa bboodi etwala essomero lya Klezia erya St. Balikuddembe S.S e Kisoga mu disitulikiti y’e Mukono Fr. Lawrence Tamale akunze abaasomerako mu ssomero lino obutalisuulirira wabula baddeyo balabe bwe baliyamba okwongera okwekulaakulanya n’okulitwala mu maaso.

Fr. Tamale ategeezezza nti mu masomero agamu amanene mu ggwanga, abaasomerayo bakoze kinene nnyo okugakulaakulanya ate nabo bennyini okwekwatako ne beekulaakulanya nga bayita mu kwesika ku mikono n’asaba n’abaasomera ku St. Balikuddembe bayite mu kibiina ki Balikuddembe Kisoga Old Students Association (BAKIOSA) bakole bwe batyo.

 

“Njagala mulabire ku bibiina nga eky’abaasomerako e Namilyango College (NACOBA), Mt. St. Mary’s College Namagunga, St. Henry’s College Kitovu n’ebirala ebikola obulungi ennyo nga bammemba baabyo beekolamu n’ebibiina mwe bayita okutereka ensimbi ne beekulaakulanya nga we twogerera ensimbi ze balina mu bittavvu byabwe ziri mu buwumbi, bano baliko enkulaakulana ze bataddewo ku masomero gaabwe, nsaba tulabire ku bannaffe abo naffe tukole bwe tutyo,” Fr. Tamale bw’alambuludde.

Okwogera bino, abadde ayogera eri abaasomerako ku ssomero lino abakungaanidde ku Koki Hotel mu kibuga Kampala ku kabaga ak’okumanyagana oluvannyuma lw’emyaka egisoba ne mu 20 bukyanga bava ku ssomero lino ne bataddayo kulabagana.

Omukulu w’essomero lino, Lydia Lukwago Kagoya asiimye abaaliko abayizi mu St. Balikuddembe abeegattira mu kibiina kya BAKIOSA n’agamba nti bazze balaga obuwagizi obw’enjawulo eri essomero n’abasaba bagende mu maaso.

Martin Nkoyoyo amanyiddwa nga Yoyo ng'acamula banne bwe baasoma.

Martin Nkoyoyo amanyiddwa nga Yoyo ng'acamula banne bwe baasoma.

“Kitukola bulungi ffe abakyali ku ssomero bwe tuwulira ng’abaliko abayizi baffe gye bali bibatambulira bulungi. Kino kijja kusoboka bwe munabeera ekitole nga buli muyizi afuluma asobola okukwatibwako oluvannyuma lw’okusoma n’afuna obukugu obwetaagisa mu ky’aba asomye oba oly’awo n’ayambibwa n’okufuna omulimu bwe kiba kisobose. Bwe tubeera n’abasawo ne bakwata ku basawo, ba looya ne bakwata ku ba looya, ba yinginiya ne bakwata ku bayinginiya, n’abasomesa bwe batyo n’abasigadde, olwo obulamu buba bunaabalemera wa!” bwe yabalambise.

Abamu ku baaliko abayizi mu ssomero lino mwe muli abayimbi ab’amannya okuli Rema Namakula, Hellena Nanjego, Martin Nkoyoyo amanyiddwa nga Yoyo, Ivan Kapeepe n’abalala.

Jude Aguma, pulezidenti wa BAKIOSA yagambye nti ku mulundi guno tebakyagala kukungaana kukola gwa kulya na kunywa nga bagenda, baasazeewo bafune omulamwa ogw’okwekolamu ekibiina eky’okutereka ensimbi ze bajja okulaba bwe bazikozesa okuzisiga babeereko eky’amaanyi kye batuukako

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags: