Ekivvulu kya Lutalo bakyongezzaayo mu November

Ekivvulu kya David Lutalo ekyali kisuubirwa ennyo ekya Babongoote, ekyabadde kirina okubaawo ku Lwomukaaga oluwedde nga 27 ku Serena Hotel Kampala, kyongezeddwayo.

Ekivvulu kya Lutalo bakyongezzaayo mu November
NewVision Reporter
@NewVision

Ekivvulu kya David Lutalo ekyali kisuubirwa ennyo ekya Babongoote, ekyabadde kirina okubaawo ku Lwomukaaga oluwedde nga 27, January ku Serena Hotel Kampala, kyongezeddwayo.

Abategesi bakyangusizza ku Lwokubiiri ku mikutu gya yintaneti ne beetondera abawagizi be kyakosezza.

Bagamba nti enteekateeka z'ekivvulu okugootaana kyavudde ku nkugaana omuli olwa NAM ne  G77 + China Third South Summit ezibadde ziyindira ku Serena ekyabawalirizza okwongezaayo ekivvulu kino.

Wabula abategesi basabye buli alina tikiti okugisigaza tikiti okutuusa nga November 8th show eno lw’egenda okuggwaako.

Login to begin your journey to our premium content