OBULWADDE buzzeemu Jose Chameleone n’addusibwa mu ddwaaliro bukubirire.
Ali mu America, gye yatwalibwa okwongera okumujjanjaba mu lubuto ng’aggyibwa mu ddwaaliro lya Nakasero gye yali mu Kampala.
Okusinziira ku buvidiyo obubadde butambula ng’ali mu America, abadde yatereeramu era ng’asuubizza okutalaaga ebitundu byayo ng’abakuba omuziki.
Wabula bwamuzzeemu n’addusibwa mu ddwaaliro mangu era bateekateeka kumulungoosa wadde nga baali baakukikola wiiki ewedde.