Kasalabecca

Bebe ayiyeemu Zuena kapyata w'enzirusi

Zuena, amanyiddwa okuvuga mmotoka ekika kino era bba Bebe yamugulidde egambibwa okuba nga yaakafulumizibwa.

Bebe ayiyeemu Zuena kapyata w'enzirusi
By: Musa Ssemwanga, Journalist @New Vision

ZUENA Kirema, mukyala wa Bebe Cool, bamuyiyeemu enzirusi ekika kya benzi. 

Zuena, amanyiddwa okuvuga mmotoka ekika kino era bba Bebe yamugulidde egambibwa okuba nga yaakafulumizibwa.

 Abadde avuga benzi enjeru ku nnamba enkadde mbu era kati eyo efuuse yaakutwala baana ku ssomero. 

Eno empya, nzirugavu era yalabiddwaako e Lugogo ku kivvulu kya Roast and Rhyme, wamma abadigize ne beekuba obwama abamu ne bawoza nti Bebe, bw’ali omuwagizi wa NRM lukulwe, afunyeemu ebirungi n’ensimbi eziwera kyokka abalala nti Bebe musajja mukozi, ezigulira omukyala benzi tezisobola kumubula.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Benz
Zuena Kirema
Bebecool
KKasalabecca