Kasalabecca

Bamakoma omuziki bagukuba nkya e Kololo!

Makoma Band, eyingiddewo okukusanyusa ku Lwokutaano luno nga March 6. Bano, New Vision ng’eri ne Pacific Events be bategese ekivvulu kino nga New Vision ejaguza emyaka 40 mu buweereza. 

Bamakoma omuziki bagukuba nkya e Kololo!
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

Makoma Band, eyingiddewo okukusanyusa ku Lwokutaano luno nga March 6. Bano, New Vision ng’eri ne Pacific Events be bategese ekivvulu kino nga New Vision ejaguza emyaka 40 mu buweereza. 

Ebikujjuko bino, biri mu kisaawe e Kololo era tikiti ekuyingiza ya 50,000/-, VIP 100,000/- abasasula kati ate abanaasulira ku ssaawa esembayo baakusasula 150,000/- ne VVIP eri ku 250,000/-.

Omusumba Wilson Bugembe yasinzidde mu kusinza ku kkanisa ye eya The Worship House e Nansana n’ayozaayoza New Vision olw’okuweza emyaka 40 ng’ewandiika n’okufulumya amawulire agakyusizza obulamu bw’abantu mu Uganda n’okwetooloola ensi yonna era n’akunga abantu bonna, okubaayo mu kivvulu kino.

Bamakoma abaatuuse mu Uganda ekiro ekikeesezza olwaleero, bayimbi nzaalwa y’e Congo nga bawangaalira Budaaki. Bayimba nnyimba za ddiini kyokka nga zino zicamula buli muntu.

Mu kivvulu kino, baakuwerekerwako abayimbi abalala Bannayuganda okuli; Pasita Bugembe, Rachael K, Best Emilly, Brian Lubega n’abalala era Owen Bugembe owa Pacific Events, akunze abatannafuna tikiti, okuzigula kati.

Tags:
New Vision
March
Makoma
Pacific Events