Eggulo ku Lwomukaaga nga August 27, abanene omuli eyaliko omumyuka wa pulezidenti Prof.Gilbert Bukenya, minisita w'ekikula ky'abantu n'ebyobuwangwa, Peace Mutuzo, eyaliko minisita Mary Karooro Okurutu, Peter ssematimba n'abalala bangi baagenze ku Serena okunyumirwa ku muziki gwe baakubanga edda.

Omuyimbi Kabuye Ssemboga y'omu ku basoose okukuba abagenyi omuziki.

Omuyimbi Seka ng'asanyusa abagenyi be ku Serena.
Ekivvulu kyatandise ku ssaawa 1:30 ez’oku makya ne bandi, olwo Kabuye Ssemboga ne Mariam Ndagire nabo ne bajja okusanyusa abantu nga Monique Seka tannajja ku siteegi.

Mary Karooro Okurut naye yabaddeyo nnyo!
Kabadde nga kawungeezi ka kwejjukanya anti obwedda buli akayimba obwedda ke basuulamu nga bebuuza wa gye bali mu biseera ebyo!

Wano bwe yabadde ku siteegi nga bwe yalabise.
Monique Seka yacamudde abantu n'ennyimba ze omwabadde Missounwa, Okaman, Baye n'endala nnyingi. Yeebazizza Bannayuganda olw'okumulaga omukwano newankubadde ng'ayimba mu Lufalansa.

Mesach Ssemakula ne Halima Namakula baabaddeyo.
Eno waabaddeyo n'okusiima abantu abaludde nga balina bye bakola mu kisaawe ky'okuyimba era abaakutaddeko ettaffaali. Mu bano mulimu Abby Mukiibi, Peter Ssematimba, Karitas karisimbi n'abalala.

Minisita Mutuzo ng'akwasa Abbey Mukiibi engule.
Ekivulu kino kyawagiddwa Vision Group ng'eyita mu Bukedde ne n’olupapula lwa The New Vision.

Eyaliko omumyuka wa Pulezidenti, Bukenya naye yabaddeyo mu 'bungi'.

Peter Ssematimba ne Eddie Ssendi tebaalutumidde mwana!