Kasalabecca

Abakkiriza mu Kristo beeswanta kivvulu kya Ada Edi okuva e Nigeria

OMWOYO Omutukuvu agenda kukka ku kisaawe kya Lugogo Hockey Grounds nga 11 November 11, 2022, nga Ada Edi omuyimbi w'ennyimba za 'Gospel' nnakinku okuva e Nigeria akuba abakkiriza omuziki mu kivvulu kye ekisose bukya luba nga lwa mmindi mu Uganda.

Abakkiriza mu Kristo beeswanta kivvulu kya Ada Edi okuva e Nigeria
By: Frank Lukwago, Journalists @New Vision

Ada eyakuyimbira ennyimba omuli  "I will sing, Congratulation, Cheta, Jesus (you are able), Only you Jesus, I testify, I Overcame, I will sing (refreshed) n'endala nnyingi essaawa yonna asuubira okutonnya mu Uganda.

Ono yatadde obubaka ku mukutu gwe ogwa 'Twitter' obugamba nti; "Uganda family, mbeesunze byansusso, twesangeyo e Lugogo.."

Ada y'omu ku bayimbi ba 'Gospel' abaliko mu Africa yonna olw'ennyimba ze ez'okusinza eziryowa emyoyo, okuzzaamu amaanyi n'essuubi wamu n'ezo ezibinusa abatemi b'omubali.

Ekivvulu kye kimu kugenda kubaako abayimbi ba Gospel bangi mu Uganda, wamu ne ba DJ ba 'Gospel' nga tiketi esookerwako ya 30,000 ate ey'ekikungu (VIP) ya 150,000.

Ekivvulu kiwagiddwa Spirit Tv, New Vision wamu ne kkampuni endala.

Tags: