Kasalabecca

Akram wa Dr. Kuulu yayiseemu dda mu ggwanga ; Yeesozze Amerika!

OBADDE okimanyi nti Akram Gumisiriza, bba wa Dokita Kulthum Nabunnya yayiseemu dda kati ali mu Amerika?

Akram wa Dr. Kuulu yayiseemu dda mu ggwanga ; Yeesozze Amerika!
By: Musa Ssemwanga, Journalist @New Vision

OBADDE okimanyi nti Akram Gumisiriza, bba wa Dokita Kulthum Nabunnya yayiseemu dda kati ali mu Amerika?

Ono yalabiddwaako mu bifaananyi ne Maggie Kayima amanyiddwa nga Nabbi Omukazi era waliwo abaatandise okugasomera mu bbaasa nti yandiba nga tajja kudda mangu Uganda. 

Kyokka era waliwo ababisoma nti okuva Akram lwe yalaga obwagazi bw'okwesogga ebyobufuzi, waliwo ababadde bamutiisa obutayingiria ntebe yaabwe nti oboolyawo ze zimu ku nsonga ezaamuleetedde okubomba. 

Akram yawasa Kulthum mu 2022, naye ng'obufombo bwonna bwe buba, nabo babaddemu n'ebisirikko.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Akram Gumisiriza
Maggie Kayima
Dokita Kulthum Nabunnya