Kasalabecca

Kulthum azaalidde bba Akram eddenzi n'aggumiza omukwano gwabwe

Hajat Kulthum Nabunnya azaalidde bba Akram Gumisiriza omwana ow'obulenzi n'aggumiza omukwano gwabwe.

Kulthum azaalidde bba Akram eddenzi n'aggumiza omukwano gwabwe
By: Frank Lukwago, Journalist @New Vision

Hajat Kulthum Nabunnya azaalidde bba Akram Gumisiriza omwana ow'obulenzi n'aggumiza omukwano gwabwe.

Kulthum eyabadde omusanyufu eby'ensusso yategeezezza omu ku bannamawulire ba TV emu nti ye ne Gumisiriza baafunye bbebi ennaku ntono emabega wadde nga baasoose kukifula kya kyama ne bakibuulirako aba famire n'emikwano nga tebaagala bisasaanire mu bantu.

Hajat yategeezezza nti ye ne bbebi bali mu mbeera nnungi era babeeza Allah.

Ono ye mwana asoose mu bufumbo bw'ababiri bano wadde nga Kulthum alina omwana omulala okuva mu bufumbo bwe N'omugenzi Sheikh Nuhu Muzaata.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Kulthum Nabunnya
Akram Gumisiriza
Muzaata