Baamugambye nti bw’anaalemwa bagenda kwekubira enduulu mu FUFA ttiimu ya URA ereme kuddamu kusamba na Express kubanga omuwanguzi aba yategeerekeka dda.
Baabadde bamucoomera oluvannyuma lwa ttiimu yaabwe okukola obulungu ku URA mu myezi ebiri egiyise nga Express yasoose kukuba URA ggoolo 2-0 mu luzannya lwa liigi olwasooka ate ne bagwa maliri mu lw’okubiri nga URA ebakyazizza.
Uganda Cup May 1 Express Bt Ura 2 1 Celebration 1
Bwe gwatuuse ku Stanbic Uganda Cup, Express yavudde mabega okuwangula URA 2-1 nga kati balinze kudding’ana.
Uganda Cup May 1 2021 Express Bt Ura Celebration 3
Ekitundu ekisooka kyaweddeko nga balemaganye 1-1 nga URA ye yasoose okuteeba nga bayita mu Ibrahim Dada olwo Express m’efuna ey’ekyenkanyi eyateebeddwa Martin Kizza.
Uganda Cup May 1 2021 Express Bt Ura Sekyembe
Mu kitundu ekyokubiri Eric Kambale yateebedde Express ggoolo ey’obuwanguzi ne bajaganya.
Uganda Cup May 1 2021 Express Bt Ura Mandela
Wabula Simbwa abalabudde nti wadde baamuwangudde ku Lwokusatu baakuva e Ndejje nga bafeesa.