Bya GERALD KIKULWE
Mu liigi ya babinywera
Kyetume 2-3 Express
Kitara 2-2 Bul
Police 0-0 KCCA FC
Vipers SC 1-1 URA
OMUTEEBI wa Express FC mu liigi ya babinywera Eric Kambale ayogezza ekirimi bw’ateebye ggoolo 3 nga bakuba Kyetume (3-2) n’awera obutabaayo agenda kumuzikiza okutuusa nga sizoni awedde.
Eggulo (Lwakusatu May 13, 2021) Kambale yafuukidde Kyetume omuteego ku kisaawe kya Nakisunga Ssaza bwe yabavudde wansi n’abakuba ggoolo ssatu.
Kyetume ye yasoose okukulembera omuzannyo ng’eyita mu ggoolo ya Ezra Kizito Kaye mu kitundu ekisooka wabula Kambale yatabuse okuva mu ddakiika eye 15, 60 ne 66 nga Ezra Bidda tanafunira Kyetume ggoolo yaakubiri mu ddakiika eye 92.
Kambale agamba nti tamanyi naye engeri gy’abikola naye Katonda y’asinga okumanya era ky’ava ayongera okumwekwasa amukuumire ku mutindo gw’aliko.
“Omupiira guno gw’abadde muzibu nnyo okuwangula, Kyetume yabadde eremeddeko naye nange simanyi Katonda ngeri gye yankozesezzaamu okufuna ggoolo essatu era ndayira sigenda kuzikiza ate sisuubirayo agenda kunsirisa nga Katonda ali kulwange,” Kambale bwe yategeezezza.
Kambale eyalondeddwa ng’omuzannyi w’olunaku kati awezezza ggoolo 11 mu liigi emabega wa Samuel Ssekamatte owa Soltilo Bright Stars(12) ne Yunus Ssentamu owa Vipers SC akulembedde abateebi ne ggoolo 14.
Express yasigadde mu kifo ekyokusatu n’obubonero 49 emabega wa Vipers SC(50) ne URA FC abali ku ntikko n’obubonero 51.
Kyetume yakubiddwa omulundi ogw’ekkumi sizoni eno mu kifo ekye 14 n’obubonero 20 mu mipiira 23.
Abaazanyidde Kyetume
Emmanuel Derrick Were (G.K), Henry Orom, Richard Matovu, Latif Kiyemba, Felix Okot, Julius Lule, Nicholas Kasozi, Moses Ali Feni, Ezera Kizito Kaye,Sharif Saaka, Cephas Kambugu
Ku katebe; Martin Othieno (G.K), Isaac Kirabira, David Seyi Oyedda, Robert Ssentongo, Steven Kabuye, Raymond Walugembe, Ezra Bida
Aba Express; Mathias Muwanga (G.K), Dennis Mubuya, Enock Walusimbi, Isa Muzeeyi Lumu, Murushid Juuko, Daniel Shabene, Godfrey Lwesibawa, Mahad Yaya Kakooza, Erick Kenzo Kambale, Martin Kizza
Ku katebe; Chrispas Kusiima (G.K), Richard Bbosa, Sadiq Ssekyembe, John Byamukama, Ivan Mayanja, Frank Kalanda, Mustafa Kiragga.