Asuula yenna ku wiikendi ava ku kikopo

TTIIMU ssatu ezigoba ekikopo kya liigi ekya Startimes Uganda Premier League kati buli mupiira gwe zizannye gwe zibala kuba asuula yenna aba ava ku kikopo.

Azizi Kayondo ku kkono ng'attunka ne Ashraf Mandela (ku ddyo).
NewVision Reporter
@NewVision

Bya ISMAIL MULANGWA

SC Villa-Vipers

Express-UPDF

URA FC-Police FC

TTIIMU ssatu ezigoba ekikopo kya liigi ekya Startimes Uganda Premier League kati buli mupiira gwe zizannye gwe zibala kuba asuula yenna aba ava ku kikopo. 

URA, Express ne Vipers ze zirwanira ekikopo kya sizooni eno era abazannyi n’abatendesi bonna bali ku puleesa ey’okuwangula buli mupiira. 

Ku Lwomukaaga URA ekyaza Police e Ndejje, Vipers ekyalire SC Villa e Bombo omupiira oguliko obugoombe so nga yo Express ekyaza UPDF e Wankulukuku. 

Police eyagala kwesasuliza URA kye yagikolera e Lugogo mu luzannya olwasooka era Abdallah Mubiru mwetegefu okusuuza URA omupiira guno kuba ttiimu ye emaze emipiira esatu nga tewangula. Ate yo Express eri ku ffoomu ennungi sizooni eno ekyaza UPDF eyagiwangirira e Bombo era Bbosa yasuubizza dda abawagizi be nti tagenda kubayiwayo. 

Vipers eyamegga SC Villa e Kitende 3-0, batabani ba Edward Kaziba baagala kussaawo kuvuganya nakwesasuliza Vipers kye yabakolera e Kitende. 

URA y’ekulembedde liigi n’obubonero 51, Vipers 50 so nga yo Express eri ku 49. 

 

 

 

 

 

Login to begin your journey to our premium content