Omuvubuka aluse ddiiru ekubye abatuuze entiisa. Awambye omwana n’atandika okukanda abazadde obukadde 3. Bwe bamuweerezzaako 500,000/- n’anyiiga n’amutuga omulambo n’agusuula mu ssamba ly’ebikajjo.
Bino byabadde ku kyalo ky’e Bulungu mu Town Council y’e Namwendwa mu disitulikiti y’e Kamuli ku Lusooka omwaka, omuvubuka Abdallah Katende Waiswa, 23, bwe yasanze John Isabirye ku Naikondo n’amuwamba n’ekigendererwa ky’okumukubirako ddiiru ya ssente.
Omulambo gwa Isabirye mu bikajjo.
Essaawa bwe zaatuuse mu matumbibudde ng’omwana tadda, kyawalirizza abazadde okutandika omuyiggo kuba waliwo abaalabye Waiswa ng’ayogera n’omwana ono ku Naikondo.
Abazadde n’Abataka beekozeemu omulimu ne basonda emitwalo 50 ne bazimusindikira ku ssimu ate ekyamunyiizizza n’amutta oluvannyuma n’abalagirira gy’ali.
Eyatiddwa mwana wa Robert Mwodi, 35, omulimi era omusuubuzi w’ebirime mu kitundu. Omuyiggo gwetabiddwamu poliisi n’ebitongole by’ebyokwerinda.
Abatuuze nga beetegereza omulambo gw'omwana Isabirye ku ggwanika
Omulambo gwagyiddwawo ne gutwalibwa mu ggwanika ly’eddwaaliro ly’e Kamuli ekkulu okw’ekebejjebwa oluvannyuma ne gukwasibwa ab’enganda bakole ku by’okuziika.
Omwogezi wa Poliisi mu kitundu ky’e Busoga, Michael Kasadha, yategeezezza Waiswa okuwamba omwana yamusanze ku naikondo ku ssaawa 2:00 ez’ekiro.
Engeri gye yabadde amumanyi, kyamwanguyidde okumusendasenda n’amutwala mu kifo ekyekusifu, gye yasinzidde okukanda abazadde ssente.
Yalabudde abazadde babe beegendereza ku nkuuma y’abaana nti ky’abadde kya bulabe okutuma ow’emyaka 7 ku ssaawa 2:00 ez’ekiro akime amazzi. Yannyonnyodde nti ekyazibuwazza okukwata omutemu, bwe yamaze okulagirira omwana gy’ali n’aggyako essimu, wabula poliisi ekyamunoonyereza.