‘Mukozese obukugu muzuule abasse omuwandiisi w’ennyimba Mike Tendo’
May 08, 2021
Omubaka wa Ntwetwe Constituency Joel Ssebikaali ,asabye abanoonyereza ku buzzi bw'emisango okukozesa obukugu bwonna okuzuula abasse omuyimbi era omuwandiisi w’ennyimba Mike Tendo.
Omubaka wa Ntwetwe Constituency, Joel Ssebikaali ng'ayogera eri abakungubazi.
Bya Patrick Kibirango
Omubaka wa Ntwetwe Constituency Joel Ssebikaali ,asabye abanoonyereza ku buzzi bw'emisango okukozesa obukugu bwonna okuzuula abasse omuyimbi era omuwandiisi w’ennyimba Mike Tendo.
Ono okwogera bino abadde Ntwetwe ku kyalo Buyondo omugenzi gy'aziikidwa wakati mu miranga n’okwaziirana , n’ategeezza nti abantu abatta bannaabwe kyetaaga bwe bakwatibwa bawanikibwe ku kalabba nga bwe kyasaliddwaawo ku bakabasanya abaana.
Tendo Eyakubiddwa Abantu Ne Bamutta.
Nga Batwala Omubiri Gwa Tendo Okuguziika.
Tendo yakubidwa abantu abatannategeerekeka ku Lwokuna ekiro mu bitundu by’e Najjeera ku ssaawa 8:00 ogw’ekiro bwe yabadde ava okukola n’addusibwa mu ddwaaliro e Najjeera gye yafiiridde.
Mukwano gwa Tendo amanyidwa nga MC Kiyee agambye nti abasse Tendo balabika baabadde batebeereza nti alina ssente kuba abadde kyajje akutule ddiiru n'ekitongole kya URA ng'alina oluyimba lwe yayimbye olusomesa abantu ku kusasula emisolo era ng'endagaano y'okumusasula eggwa ku Mmande.
Tendo afiiridde ku myaka 28 ng'alese mulekwa ow'omwaka ogumu ne nnamwandu , ng'abadde awandiikidde abayimbi bangi ennyimba okuli; Flash Love, Lyto Boss , Lisa Patricia n'abalala.
No Comment