SIPIIKA wa palamenti Anita Among ategeezezza nga bwategenda kukkiriza bantu kumuyisaamu lugaayu okutuuka kumunenya ku nsonga zatamanyiiko yadde n'agamba nti ye tajja genda mu nkuubo kulekaana nga bwalaba abalala nga palamenti ensonga wezirina okugwera weeri.
Mu bubaka bwe nga aggulawo palamenti olwaleero, sipiika Amonga ajjukiza ababaka abazira entuula nti kati ziweze 6 ku 15 ezimuwa obuyinza okugoba abo abatakiika mu ntuula ewatali nsonga yonna.
Olunaku lw'eggulo sipiika era yalagidde nti ababaka abadduka mu palamenti tebaddamu kulinnya mu bukiiko era nga wano ababaka okwabadde Dan Kimosho bamusabye ekirago kimule ne kubanja okulya emmere ya palamenti besoyiwe kantiini bave mukujja okulya obulyi emmere.
Mukwanukula ku bubaka bwe, omubaka wa munisipaali y’e Busia Geoffrey Macho agambye nti we bituuse, abantu bawuliriza muntu omu mu kifo ky’okubererawo abantu ababalonda najjukiza ababaka ku ludda oluvuganya nti okusanyusa omuntu omu tekirina wekigenda kubayambira.
Omubaka wa Bukimbiri County Eddie Kwizera nti ekyaviirako ababaka okufuluma tekyali mu palamenti nga yewuunya lwaki ensonga tebaziloopa gyezirina okulopebwa nasaba nti wekiba kisoboka batekeewo akakiiko okukola kukunonyereza.
Ono sipiika amwanukudde nti n’ensonga ezimu abantu ze boogerako ye teyaliwo era n'agamba nti tajja kulwanira lutalo lwonna lwatamanyi mu nkuubo nga banne bwebakola era n'agamba nti abantu balaba katemba gwebalimu nga ye tajja muyingiramu.
Nnampala wa gavumenti mu palamenti agambye nti gavumenti yakola dda ogwayo era alipoota zonna zasomebwa dda neyebuuza banamala bbanga ki nga begayirira abantu okudda ewatali nsonga ebasaba kudda era nasaba sipiika okukozesa obuyinza bwonna bakomewo mu ntuula.
Minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza n’emizannyo Peter Ogwang agambye nti palamenti abamu bajifudde kifo kyakuzanyiramu Katemba nga ye ekyamuleeta yali yegomba engeri ababaka edda gyebali beyisaamu wabula nga balaba kati bamwewuunyisa.
Ogwang agambye nti tewali kyebafiirwa nga abantu abamu tebajja mu palamenti kubanga emirimu gitambula bulungi nagamba kisingako nebatakomerawo ddala.
Wabula omubaka wa Soroti West – Jonathan Ebwalu abuuziza oba tekisanidde gavumenti kukomawo kujja kunyonyola ku nsonga zino bannabwe nebakomawo wabula ono sipiika amwanukidde nti tebayinza kubaako kyebabanja gavumenti wabweru wa palamenti era nagamba nti ye siwakulinya mu nkuubo.