Emboozi

Omusomo gwa Master Class ku Bukedde TV1 ogutandika leero gwakukulaga ensobi ezikufi iriza ku ffaamu yo

OKWAWUKANA ne bizinensi endala ezirina omukisa okutereeza ensobi ezibeera zikoleddwa okwewala okufi irizibwa, buli nsobi gy’okola mu bulunzi evaakookufi irizibwa mu nnyingiza.

Dr. Geo rey Mukama owa Koudijs BV ng’asomesa okulabirira enkoko ku Bukedde TV1 omwaka oguwedde. Yali ne Siraje Kizito. owa Bukedde TV1 ng’akubiriza pulogulaamu.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OKWAWUKANA ne bizinensi endala ezirina omukisa okutereeza ensobi ezibeera zikoleddwa okwewala okufi irizibwa, buli nsobi gy’okola mu bulunzi evaako
okufi irizibwa mu nnyingiza.

Dr. Geoffrey Mukama, atwala eby’okutunda emmere ya kkampuni ya Koudijs Animal Nutrition BV, agamba nti, waliwo ensobi ez’enjawulo ezikolebwa abalunzi mu Uganda eziremesezza ffaamu zaabwe okukulaakulana ate n’okufi irizibwa.

“Ensobi ekolebwa ezisinga, zisoboka okwewalibwa singa omulunzi ategeera kye bateekeddwa okukola. Kino kye kigenda okussibwako essira mu musomo gwa Master Class okuyamba abalunzi okutegeera ensobi ze bakola ku ffaamu zaabwe ez’enjawulo okusobola okukola amagoba,” Mukama bw’agamba. Omusomo guno gugenda kulagibwa butereevu ku Bukedde TV1 okutandika leero ku Mmande nga May, 25 okutuusa ku Lwokutaano nga May, 29 okutandika ku ssaawa 5:00 ez’oku makya okutuuka ku ssaawa 6:00 ez’omu ttuntu

Tags: