Omuceere ogutafuuyiddwako oba guyite ogwa kitaka abantu bangi tebagwagala wabula nga gwe gujjudde ebiriisa byonna ebyetaagibwa mu mubiri era nga gukola kinene ku kukuuma enkwaso nga nnamu bulungi.
• Omukugu mu by'endiisa, Daniel Kamara, agamba nti, omuceere ogwa kitaka gulimu ebirungo okuli ekya ‘Vitamiini E', ‘Magnesium', n'ekirungo kya ‘Zinc', nga byonna bikola omulimu ogw'amaanyi mu
kukuuma enkwaso nga nnamu.
• Annyonnyola nti, omuceere guno gubaamu ‘Vitamiini E', eyamba mu kuziyiza enkwaso obutafuna bulabe, ekirungo kya ‘Magnesium' kyo nenkiyamba mu kutambuza obulungi enkwaso.
• Ekirungo kya ‘Magnesium', kiyamba n'ebinywa by'omubiri byonna okukola obulungi.
• Ekirungo kino kiyamba n'okutambuza obulungi omusaayi ne gutuuka mu bitundu by'omubiri ebitali bimu nga mw'otwalidde n'okugutuusa mu bitundu by'omusajja ebyekyama.
• Ate, ekirungo kya ‘Zinc' kiyamba mu kukola enkwaso, era ebirungo bino byonna ebisatu byongeza emikisa gy'omusajja egy'okuzaala.
• Wabula ng'oggyeeko ebyo, omuceere ogwa kitaka gwongeza ne ku bwagazi bw'omusajja nga guyita mu kirungo kyagwo ekya ‘Niacin' kye tugufunamu.