Kalumya omutwe ne guba nga ogulimu ekizimba, era okukutama n’okukutaamulukuka luba lutalo, anti n’omutwe guba nga ogunaatera okwabika.
Aidha Makooma ow’e Nalina mu ggombolola y’e Kagulu e Buyende, agamba nti, emirandira gy’ejjobyo ky’ekiddukiro ku kawulukutu.
Agamba nti, akawulukutu gaba mabwa agajja n’omusujja omungi, era okukukolera obulungi, sima emirandira oginaazeeko ettaka, bw’omala gikoonekoone oba gisekule gigonde. Bw’omaliriza funa akasoggo mu kikoola ky’omutuba olizinge olisseemu.
Olwo tandika okunyiga mpolampola ng’amazzi bwe gavaamu era gano g’otonnyeza mu kutu kw’omulwadde buli luvannyuma lw’essaawa ssatu. Olunaku lugenda okuggwaako nga kaabise era omulwadde ng’akkakkanye ku bulumi.