Asiika obulamu ; Kw'olabira nti ensigo zo zitandise okwonooneka

14th December 2022

OBUCAAFU n’amazzi bwe biyitirira mu mubiri bwe bumu ku bubonero obwoleka nti olina ekikyamu ku nsigo zo.

EKifaananyi kya yintaneeti.
NewVision Reporter
@NewVision
#Emboozi #Ebyobulamu #Asiika obulamu

Dr. Julius Luyimbaazi, akulira eddwaliro ly’e Lubaga era omukugu mu kulongoosa ebitundu by’omubiri ebikwatagana n’ensigo, agamba ensigo ze zirafuubana okusengejja ebintu ebitalina kubeera mu mubiri ne bifuluma, omubiri ne gusobola okusigaza ebirungo n’ebiriisa ebitaliimu kacica yenna.

Okusobola okutuukiriza obulungi emirimu gyazo, ensigo zirina kubeera 2. Wabula, waliwo n’abazaalibwa n’ensigo emu yokka, ate ne babeerawo nga balamu.

Bwe wettanira ebibala nga wootameroni osobola okulongoosa omubiri gwo.

Bwe wettanira ebibala nga wootameroni osobola okulongoosa omubiri gwo.

Wabula, Dr. Ivan Magale omusawo ku Universty Hospital e Makerere yagambye nti tekisangika era nti ku buli baana 100 abazaalibwa, oyinza okusangako omu yekka azaaliddwa n’ensigo emu.

Bw’obeera n’ensigo emu, ogireetera okukola ekisukkiridde n’ekoowa ne kigissa mu matigga g’okufuna obuzibu n’okwonooneka amangu.

Dr. Luyimbaazi yagambye nti obucaafu n’amazzi bwe biyitirira mu mubiri bwe bumu ku bubonero obwoleka nti olina ekikyamu ku nsigo zo.

 Mu buwufu bwe bumu, ensigo bwe ziba zitandise okwonooneka, osobola okujjirwa embeera gy’otategeera, okuli okunafuwa omubiri, okulumwa nnakannyama, okulumwa ebinywa, okufuna kamunguluze, okulumwa omutwe, obutaagala kulya, oba okwesanga ng’omusulo gw’ofuuyisa mutono ekiyitiridde ku gw’olina okufuuyisa oba okufuuyisa omusulo nga gulimu olusaayisaayi oba  ekyovu kingi.

Ekibala ekya 'apple' nakyo kirungi nnyo.

Ekibala ekya 'apple' nakyo kirungi nnyo.

Ebyovu ebingi mu musulo byoleka nti gujjuddemu ekiriisa ekizimba omubiri ekya “protein”. Ekiriisa kino bwe kijjiramu, kitegeeza ensigo tezikyasobola kugusengejja bulungi.

Ensigo zo bwe zoonooneka, basobola okukufunira ensigo endala okuva mu muntu munno, oba ne bakussaako ensingo ey’ecuuma emanyiddwa nga Dialysis Machine”.

Wabula, Dr. Magale agamba, waliwo okunoonyereza okwakolebwa ne kizuulibwa nga, bw’obeera ofunyeemu ensigo okuva ku muntu omulala, ggwe osobola okuwangala emyaka 10, okusinga ku muntu gwe bataddeko ensigo ey’ekyuma.

Dr. Robert Kalyesubula, pulizidenti akulira ekitongole eky’eby’ensigo ekya Uganda Kidney Foundation, agamba okuwangaaza ensigo zo, olina okwewala okulyanga ennyo ennyama n’ebintu eby’amasavu. Era olina okunyiikira okukolanga dduyiro, atenga bwe weewala n’ettamiiro.

Emicungwa nagyo mirungi ddala.

Emicungwa nagyo mirungi ddala.

 Dr. Kalyesubula akubiriza n’abantu okunywanga ennyo amazzi waakiri liita nga 2 okudda waggulu buli lunaku.

Ng’oggyeeko okunywa amazzi, nti olina n’okunyiikira okulyanga ebibala nga “Apple”, “wootameroni, straw berries,(enkenene), amapaapaali, ennaanansi, emiyembe, obutunda, emicungwa amenvu n’ebirala.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.