Amawulire

Mmengo esanyukidde ensala ya kkooti ku by’ettaka

MMENGO esanyukidde ensala ya kkooti eyalagidde nti teri muntu akkirizibwa kuwaanyisa bwannanyinni bwa kibanja ku ttaka lya mayiro nga tamaze kufuna lukusa kuva wa nnanyinni ttaka

Bannamateeka ba Buganda Land Board
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

MMENGO esanyukidde ensala ya kkooti eyalagidde nti teri muntu akkirizibwa kuwaanyisa bwannanyinni bwa kibanja ku ttaka lya mayiro nga tamaze kufuna lukusa kuva wa nnanyinni ttaka.
Kino kiddiridde omulamuzi wa kkooti enkulu evunaanyizibwa ku by’ettaka, Bernard Namanya okuwa ensala mu musango wakati wa Kassim Bagenda ow’ekyapa ne Ronald Ssenyonga ow’ekibanja nga September 14, 2023 mwe yalamulidde nti Ssenyonga agobwe ku kibanja kye yabadde alemeddeko kubanga bwe yali akisengako, teyasooka kweyanjula wa Bagenda - nnanyinni ttaka.
Mu musango guno, kyategeerekese nti Bagenda yabadde alina ekyapa ku ttaka lino wabula nga Ssenyonga agamba nti ye yagulako ekibanja. Omulamuzi yamuggyiddeyo akawaayiro k’etteeka erifuga ettaka akagamba nti obuguzi bwonna obw’ekibanja bulina kusooka kukakasibwa nnannyinni ttaka.
Ennongoosereza mu tteeka ly’ettaka eyakolebwa mu 2010 mu kawaayiro 35, baakirambika nti omuntu ow’ekibanja yenna tasobola kweggyako kibanja ekyo ng’akitunze, akigabye, akitonye oba mu ngeri endala yonna nga tafunye lukusa lwa
nnanyinni ttaka.
Kino singa akikola, etteeka lyalambika nti asobola okutanzibwa ssente eziwerera ddala 1,920,000/-, asobola okusibwa emyaka ena oba byombi ate era n’ekibanja ne kitwalibwa.
Okusinziira ku Mumyuka w’akulira ekitongole kya Buganda Land Board (ekivunaanyizibwa ku ttaka ly’Obwakabaka bwa Buganda), Bashir Kizito, omusango
guno guggyeeyo ensonga gye bazze basomesa abantu nti kiba kya buvunaanyizibwa okumanya nnannyinni ttaka nga tonnasenga mu kitundu. Kizito, mu kiseera ky’ekimu Muyima (Attorney) wa Kabaka ku misango gy’ettaka.
Kizito yategeezezza nti newankubadde etteeka ly’ettaka libadde n’ennambika eno, abantu batono ababadde balowooza nti bisobola okutuuka ku muntu.
“Abantu bayinza okulowooza nti ensala eno ye yasoose wabula wabaddewo emisango mingi ekikula kino mu kkooti.
Mu mwaka guno gwennyini, waliwo omusango ogwabadde wakati wa Gerald Ssemwogerere, Bonny Kakumba, Charles Bwanika n’abalala era kkooti yasala nti
ekibanja bwe kiwaanyisa emikono nga tewali lukusa lwa nnannyini ttaka, obeera obuguzi bukufudde era osobola okusibwa oba okutanzibwa,” Kizito bwe yategeezezza.
Omusango gwa Ssemwogerere gwali ku ttaka lya Bwakabaka era gwalaga nti ne bw’aba
Mwami wa Kabaka nga yaakuteereddeko omukono tekimala, omuntu alina okufuna
olukusa okuva mu Buganda Land Board kubanga ky’ekitongole kyokka ekikola ku
ttaka ly’Obwakabaka.
ABALI KU TTAKA LYA KABAKA BAWABUDDWA
Olw’embeera eyo, Kizito yakubirizza abantu bonna abalina ebibanja ku ttaka lya Kabaka oba ery’obwannannyini nti batwale obuvunaanyizibwa okunoonya bannannyini ttaka babeeyanjulire era basasule obusuulu. “Buli muntu yenna alina ekibanja ku ttaka erya mayiro (ettaka lyonna eritundibwa nga lya ndagaano si kyapa) kitegeere nti bw’otofuna lukusa lwa nnannyini ttaka, obuguzi obwo bubeera bufu. Etteeka ligamba nti singa embeera eyo etuukawo, ekibanja kiddira nnannyini ttaka, so ssi oyo abeera akuguzizza,” Kizito bwe yagasseeko. Yakubirizza babbulooka abakola ku nsonga z’ettaka lya Kabaka beewale okuguza abantu empewo nga basooka n’okubanjula mu
BLB. “Ensala ya kkooti weeri ate n’etteeka weeriri. Tetwagala bantu baffe banoonye ssente ate bagule ebibanja eby’empewo.”
SSAABAWOLEREZA W’OBWAKABAKA ALAMBISE Ssaabawolereza wa Buganda, Christopher Bwanika yategeezezza Bukedde nti abadde akyogera lunye mu nsiisira z’ebyamateeka ne mu kwogera kwe eri abantu nti etteeka ekikola weeriri lwa kuba libadde teriteekebwa mu nkola. Yasabye abantu okwekenneenya ennamula eno. Ng’Obwakabaka, Bwanika yategeezezza nti baakugenda mu maaso nga basomesa abantu amateeka amatuufu agakwata ku by’ettaka nga bwe gali mu Ssemateeka wa Uganda

Tags: