EBY’OMULAMBO gwa bbebi agambibwa okubbibwa mu takisi e Matuga bikyuseemu, bwe kizuuliddwa nti omukazi yandiba nga yaguwadde omusajja omulala.
Aba famire y’omusajja eyabadde asuubira nti ye taata w’omwana baaloondodde essimu ya Nakimuli Jjumba (Maama wa bbebi) ne bakizuula nti bulijjo gwe bayita omwana waabwe ate omukazi yamugabidde omusajja omulala nga kino baakitegedde oluvannyuma lw’okulondoola ssimu y’omukazi ne balaba amasimu agaamukubibwa obudde obwo era ne kizuulibwa nti omugenzi yaziikiddwa mu bitundu by’e Gayaza.
Aba famiire bano nga bakulembeddwamu Faith Nabasirye baasoose kwekkaanya akatambi ke bagye mu ssimu ye ak’omugenzi mu kaseera ke yabadde mu ddwaaliro e Mulago ng’amaloboozi agali mu katambi kano alinga ayogera n’omuntu omulala ku ssimu ng’akozesa ebigambo bino “Ffe nno tuli mu ddwaliro omwana mulwadde ali
mu kwesika nkukubira amasimu ogafuula bbize, bwobanga nebakazi bo osooka nga n’omanya omuntu alina abaana kiki ky’akugamba.” Ebigambo bino Nabasirye yagambye bye byasinze okubaleetera okwekengera oba ddala omwana ono yabaddeM waabwe kuba bwowulira eddoboozi nga lya mukyala waabwe Nakimuli Jumba bulijjo gwe balina essuubi nti bamulinamu abaana basatu.
Nabasirye yagambye nti wano baatandise okunoonyereza nga baatandikidde ku ddwaliro lya Seroka Medical Centre erisangibwa e Migadde gy’agamba nti gye yasooka okuddusa omwana nga tannaba kumutwala mu ddwaliro e Mulago okukakasa oba ddala yatuukawo okumanya ekituufu ekikwata ku muntu waabwe. Yannyonnyodde nti ekyasinze okubaleetera okwekengera kwe kutuuka ku ddwaliro lya MSeroka okubannyonnyola ku bikwatagana ne Namigadde kyokka amannya nga ge bogera ku ddwaliro lino abasawo tebagamanyi okutuusa bwe baatandise okubannyonnyolaM omuzadde awo ne bamutegeera ng’ekyasinze okubeewuunyisa nga ku ddwaliro lino amanyi amannya malala nnyo nga omwana abadde yamuwandiisizza mu mannya ga American Pearl nga bebuuza gano mannya ki ge yawa omwana ate nga nabo bamanyi malala.
Yagasseeko nti kino kyabamalidde ne batatawaana kugenda Mulago okwongera okunoonyerezza wabula baagenze mu byempuliziganya okwongera okuzuula baani be yayogera nabo ku lunnaku olwo (call data) wakati nga afunye obuzibu buno.
Okusinzira ku Nabasirye, ono Nakimuli Jumba yabadde tasuubira nti basobola okumunoonyerezaako mu ngeri eno kuba amasimu ge baanoonyerezza mu bantu be yakubira waliwo ennamba y’omuntu gwe batamanyi gwe yasinga okwogera naye nga
omwana yaakafa ng’omulongooti guno gwabadde gubalaga nti yali Mulago wabula nga mu kuva e Mulago kkamera zimulaga nga sala ekkubo nga waliwo amukwatiridde. Mu kusala ekkubo omwana yali amaze okumuwaayo mu kadde ako. Yategeezezza nti emu ku nnamba baawaliliziddwa okugikubako ne bategeeza nga beefudde abalumirirwa era wano kwe kukimanya nti omwana yaziikiddwa mu bitundu by’e Gayaza e Kasangati ku Lwomukaaga nga n’omusajja bategeddeko erinnya limu lyokka eryaM Ronald kyokka eddala teyalibabuulidde wabula nga naye ku ssimu yabadde mwennyamivu nnyo olw’okufiirwa omwana we gwabadde ayagala ennyo.