SUKAALI bwafuuka bulwadde bwa lukonvuba mu ffamire ezisinga obungi. Mu
bamu sukaali abeera alinnya oba okukka naye nga byonna bikosa obulamu.Ggwe atawaanyizibwa sukaali naddala alinnya kola bino okumukkakkanya:
Omutaka Haruna Mbulakaayo ow’e Galiraaya - Kayunga agamba nti, emyaka egisoba mu 30 atawaanyizibwa sukaali era bino by’akozesa okumukkakkanya:
1. Fumba emirandira gya ssere nga n’obusigo ng'obutaddemu, gattamu ebikoola bya ovakkedo, ebikoola by’ekitaffeeri n’akafugankande ofumbe. Kyokka amangu ddala nga bitokose, mamirirako evvu liyambeko mu kulikuuma ekiseera ekiwanvu.
Oluvannyuma teeka mu kicupa kya liita onyweeko buli lunaku emirundi ebiri ssukaali ajja kukakkana.
2. Fumba ebikoola bya jjambula obyanike mu musana bwe bikala obise ofunemu ensaano.Gattamu ensigo ya ovakkedo nga nazo osooka kuzisekula n'efuuka ensaano. Oluvannyuma gatta ensaano ya ovakkedo n’eya jjambula ogiteeke ku caayi buli lw’onywa ekole nga amajaani.
3. Funa ekinzaali ekiganda okisekule okikaze okolemu ensaano onywerenga ku caayi oba mu mmere, bw’onyiikira sukaali akakkana.