Yinginiya Ssekibuule agamba nti omusenyu gusobola okubeera mu langi ez’enjawulo omuli enjeru, eya kitaka n’endala. Wabula omusenyu omulungi tegulina kubeeramu bitole. Guteekwa okuba nga gweta bulungi nga bw’olaba sukaali.
Ebitole bino biraga nti omusenyu gulimu ebitali bituufu (impurities) ebigaana omusenyu guno okunywera ne seminti. Omusenyu guno era osobola okugukebera nga bagutuusizza ku sayiti.
Osobola okugukwata mu kibatu kyo n’omala n’oguta, bwe guleka obukyafu mu ngalo zo omanya nti ssi mulungi. Olumu gubeeramu ettaka.
Bw’okozesa omusenyu ogutali mulungi mu kukuba ppulasita, ekisenge bwe kikala ne bw’oba wakozesa seminti nga mungi nnyo kitandika okuyiikayiika olumu nnannyini nnyumba n’agamba nti omuzimbi ye yabba seminti.
Omusenyu gutundibwa okusinziira mu bipimo by’emmotoka ez’enjawulo, obuwanvu bw’olugendo we gutwalibwa. Tukulaze ebbeeyi y’omusenyu mu bifo ebyenjawulo mu Kampala n’emiriraano.
OGW’ENNYANJA
Sino Truck etundibwa wakati wa 1,800,000/- ne 2,000,000/-
Magulu 10 etundibwa wakati wa 500,000/- ne 600,000/-
Forward (kibaati) etundibwa wakati wa 450,000/- ne 500,000/-
Forward (flat) etundibwa wakati wa 220,000/- ne 300,000/-
Elf eri wakati wa 120,000/- ne 170,000/-
OGW’OMUGGA (PULASITA)
Magulu 10 ya 500,000/- n’okudda waggulu.
Magulu 10 kiswa-700,000/- n’okudda waggulu.
Forward (kiswa) ya 400,000/- n’okudda waggulu
Forward (flat) ya 200,000/- n’okudda waggulu
Elf eri wakati wa 120,000/- ne 150,000/-