Fahad Twaib, omukugu mu nsonga z’okutayirira akkaatiriza nti, kirungi abazadde ne bafa ku baana baabwe nga bato nga babakomoza kubanga kitangira bingi okuli:
Okuyamba omwana oyo okutaasa obudde bwe mu bukulu bwe yandimaze ng’agenda okukomolebwa.
Omwana bw’akomolwa nga muto, awona mangu ekitali ku basajja bakuze. Omwana asobola okuwonera mu nnaku ttaano ate abakulu bamala wiiki eziri wakati wa bbiri ku ssatu.
Omusawo omukugu asooka kusannyalaza gw’agenda okutayirira. Waliwo abatayirira abantu nga tebabasannyalazza naye Twaib agamba nti bo abasawo ekyo tebakikola kuba
kireetera omuntu okuwulira obulumi n’okwejjusa.
Musawo Twaib ayongerako nti, bw’otayirirwa mu ddwaaliro, otungibwa ekikuleetera okuwona amangu kyokka abalala bo tebatunga, ekiwundu bakireka kyasamye ekiyinza n’okusika obuwuka okukigwako n’otana