KIBIRANGOOMUYAMBI wa RCC wa munisi-paali y’e Makindye, Florence Mirembe Mwebe, awabudde abaddukanya pulo-jekiti za Gavumenti ez’okukulaakulanya abantu okuzikwata n’amazima zisobole okuvaamu ebibala.
Mwebe yalaze essanyu olwa pu-logulaamu ya State House eya Youth Wealth Creation gye yagambye nti, esitudde ebyenfuna by’abantu mu kitundu kye n’asiima Pulezidenti Musev-eni n’avunaanyizibwa ku maka g’Obwapulezidenti, Jane Barekye, olwa pulogulaamu eno. Yagambye nti, obwerufu n’obulambulukufu obukoz-esebwa omukwanaganya waayo, Faisal Ndase, kye kigisobozesezza okutuuka ku biruubirirwa byayo n’asaba abalala okumulabirako.
Bano baatalaze ebitundu eby’enjawulo mu Makindye okwabadde Luwafu, Kizungu, Ns-ambya, Lusaka Madirisa n’ebirala nga balondoola abantu abaayam-bibwako mu pulogulaamu eno era bangi ku bo baasanze embeera y’ebyenfuna yaabwe ekyuse. Mwebe yakubirizza abantu bu-lijjo okwettanira enteekateeka za Gavumenti ez’okwekulaakulanya n’okukwatanga obulungi obuy-ambi obuba bubaweereddwa basobole okubuganyulwamu.
Yakubirizza abantu abaafuna obuyambi nga balina okuzzaayo ssente okubeera abeesimbu, ba-zizzeeyo zisobole okugasa abalala. Abantu abaalambuddwa baay-ogedde ku ngeri pulojekiti eno gy'ekyusizza obulamu bwabwe ne basaba Gavumenti eyongere okubasuula omukono kubanga embeera eyongedde okukaluba. “Nga tebannampa buyambi, embeera yali nzibu naye kati nso-bola okutereka 25,000/- olunaku. Nneebaza omukyala Jane Barekye okutulowoozaako ffe abantu aba wansi,” Juliet Busuulwa ow’e Nsambya bwe yalaze essanyu. “Nasooka kuweebwa eng'ano ne butto naye omuliro ne gukwata ekitundu ne gusaanyaawo em-maali yange. Baakomawo ne batudduukirira n’obuyambi bwa ssente ne nfuna akakadde ke nakozesa okutandika bizinensi y’engatto mwe ndi kati. Nnee-baza nnyo Pulezidenti Museveni,” Gorrett Nambuya bwe yagambye n'abasaba bayambe n'abalala