Emboozi

Ensonga 6 lwaki wandikomozza omwana nga muto

Fahad Twaib, omukugu mu nsonga z’okutayirira akkaatiriza nti, kirungi abazadde ne bafa ku baana baabwe nga bato nga babakomoza kubanga kitangira bingi okuli

Fahad Twaib omukugu mu kutayirira.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Fahad Twaib, omukugu mu nsonga z’okutayirira akkaatiriza nti, kirungi abazadde ne bafa ku baana baabwe nga bato nga babakomoza kubanga kitangira bingi okuli:
 Okuyamba omwana oyo okutaasa obudde bwe mu bukulu bwe yandimaze ng’agenda  okukomolebwa.
 Omwana bw’akomolwa nga muto, awona mangu ekitali ku basajja bakuze. Omwana asobola okuwonera mu nnaku ttaano ate abakulu bamala wiiki eziri wakati wa bbiri ku ssatu.
 Omwana abeera ataasiddwa obulumi bw’obukulu. Twaib annyonnyola nti, abantu abakulu nga batayiriddwa, basumbuyibwa naddala mu biseera by’oku makya kuba buli lwe yeegolola, ekiwundu kikosebwa awava obulumi.
Wabula omusawo agamba nti, kisaanye omwana n’omulinda n’aweza waakiri wiiki emu
n’olyoka omutayirira kubanga kino kiyamba okwetegereza embeera y’omwana n’okakasa nti, mulamu bulungi. Kirungi n’ogenda eri omusawo omukugu amutayirire kubanga bingi by’oba ogenda okutangira okugeza, singa ovaamu omusaayi omungi, omusawo amanya ky’azzaako n’otaasibwa mangu.
 Atali musawo mukugu, bw’atayirira omuntu asobola okumukyamya ekikula okugeza akaliba ak’omunda oluusi bakalekako ng’omuntu oyo bw’akula ne yeegatta mu by’omukwano, alumizibwa.

 Omusawo omukugu asooka kusannyalaza gw’agenda okutayirira. Waliwo abatayirira abantu nga tebabasannyalazza naye Twaib agamba nti bo abasawo ekyo tebakikola kuba
kireetera omuntu okuwulira  obulumi n’okwejjusa.

 Musawo Twaib ayongerako nti, bw’otayirirwa mu ddwaaliro, otungibwa ekikuleetera okuwona amangu kyokka abalala bo tebatunga, ekiwundu bakireka kyasamye ekiyinza n’okusika obuwuka okukigwako n’otana

Tags: