Emboozi

Embeera omuntu mw’atalina kutayirirwa

Omuntu nga mulwadde naddala endwadde eziva ku bukaba, ng’avaamu amasira, ng’alina ebbwa takkirizibwa kutayiriwa. Asooka kujjanjabwa n’awona olwo n‘atayirirwa.

Abasawo nga batayirira omusajja.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Omuntu nga mulwadde naddala endwadde eziva ku bukaba, ng’avaamu amasira, ng’alina ebbwa takkirizibwa kutayiriwa. Asooka kujjanjabwa n’awona olwo n‘atayirirwa.
2 Omulwadde wa ssukaali oba puleesa naye alina kusooka kulinda endwadde ezo ne zikkakkana. Wabula omulwadde wa ssukaali ng’eddagala lye alimira bulungi, osobola okumutayirira kasita ssukaali basooka okumupima nga tali waggulu. Ono alina okusigala ng’alondoolwa okulaba embeera gy’alimu.
3 Omuntu alina ekirwadde ng’omusaayi bwe gumuvaamu tegukwata naye talina kutayirirwa.
4 Omuntu alina enkula eyitibwahypospadias. Ono abeera musajja naye ng’akatuli w’afuyisiza tekali ku nkomerero ya busajja bwe wabula nga kali wakati, waggulu oba wansi w’obusajja. Embeera bw’eti ezibuwaza omulimu gw’okukomola era omusajja ow’ekikula kino, kirungi n’atakomolwa.
ATAYIRIDDWA ALINA KUYISIBWA ATYA?
l Aweebwa eddagala erikkakkanya obulumi n’eriyamba ekiwundu okukala.
l Akubirizibwa okwewala okuyiwa amazzi ku kiwundu okumala wiiki emu era ne mu kunaaba aweebwa amagezi okusibawo akaveera waleme okutoba.
l Bw’aba afuuyisa, ku busajja assaako toilet paper omusulo guleme kugenda mu kiwundu.
l Akubirizibwa okwambala akapale akamuweebwa nga kano kayamba okukuumira obusajja bwe mu kifo kimu.
l Ku mbeera y’obusajja okwereega buli ku makya, akubirizibwa okuva mu buliri amangu ddala nga yaakazuukuka. Okussa ekigoye ekibisi wansi w’obusajja ku nsigo, awo obusajja buba bugenda kukkakana era buli lw’asituka, akubirizibwa okugenda okufuuyisa.
l Akubirizibwa okwewala okwetikka ebintu ebizito wamu n’okukola dduyiro ow’amaanyi.
l Omuntu atayiriddwa akubirizibwa okwewala eby’okwegatta okumala wiiki mukaaga era addeyo ku mirimu akole kubanga okutayirirwa tebufuuka bulwadde.

Tags: