LEERO nga tujaguza olunaku lw’abakyala mu nsi yonna tujaguza olw’engeri gye basobodde okweyubulira mu bintu eby’enjawulo ekiyambye n’abalala okusituka.
Abakyala bavuddeyo okwenyigira mu mirimu egy’enjawulo omuli n’egyali gimanyiddwa nga egy’abasajja era ne bagikola bulungi ddala.
Oliver Kisakye naye ali mu gwa kukanika mmotoka.
Waliwo n’abali mu bukulembeze mu bifo eby’enjawulo ekireese enkulaakulana mu ggwanga ne mu bitundu gye babeera kubanga basobodde okuwanirira ebintu bingi.
Jesca Mercy Lunyolo ow’e Bweyogerere y’omu ku bakyala envuumuulo abeefunidde erinnya mu bwamakanika omulimu ogwali gumanyiddwa nga gwa basajja.
Omulimu agumazeemu emyaka 7 era gumuyambye okulabirira bazadde be n’okuweerera baganda be.
By’akola mulimu okutereeza bbuleeki z’emmotoka, okukyusa woyiro n’okukanika yingini. Obukugu bwe obusinga buli mu kukanika yingini naddala ez’emmotoka ezikozesa amafuta ga peetulooli n’aga disero.
Jesca Mercy Lunyolo Ng’akanika Emmotoka.
Lunyolo agamba nti, kitaawe yamuyigiriza emirimu gy’ekisajja okuli ogw’okusiiga langi, ogw’obuzimbi n’ogw’okukanika naye amaanyi agatadde mu kukanika kuba yakula ayamba ku taata we mu galagi okumuweereza ebyuma.
“Okukanika nnali nkuvuddeko olw’abaana okunjerega wabula taata n’anzizaamu amaanyi era n’antwala ne mu ttendekero e Masaka.
Kati nkolera ku galagi ya Sf. Motor Workshop e Bweyogerere wabula oluusi ntambula mu galagi ezitali zimu nga baliko omulimu gwe bampitidde okukola ku yingini z’emmotoka.
Mu wiiki nnyinza okufuna emmotoka nga bbiri ezeetaaga okuyiwa n’okusiba yingini omulimu nga guwedde nnyinza okufuna wakati w’emitwalo 80 ne 1,200,000/-.
Kereni naye akanika mmotoka e Mbarara.
Ekyali kisinze okummalamu amaanyi nga bakasitoma bannyooma wabula abasinga bwe balabye ntegeera kye nkola bannettanira era nkulembeza kubeera mwesimbu", Bwatyo Lunyolo bw’annyonnyola .
Oliver Kisakye (27) ne Ritah Nerima (20) nabo bamakanika ng’obukugu bwabwe buli mu kutereeza waya z’emmotoka eziva e Japan nga ez’ekika kya Toyota, Mitishubishi, Nissan, Subaru n’endala.
Awosimire Kereni y’omu ku bakyala abeenyigidde mu kukanika mmotoka mu kibuga ky’e Mbarara. Yali mufumbi wa caayi wabula olwa ssente eziri mu kukanika omulimu gwe yasooka okukola yagusuulawo n’afuna amubangula mu kukanika era kati kafulu mu kutereeza mu yingini, ggiya bbokisi ne sekabuzooba.