SPINACH bivaavava abantu bye bettanira okulya ate ne babiganyulwamu mu ngeri ezitali zimu.
Omukugu mu by’endiisa Fidelis Luke Oundo, agamba nti, ‘spinach’ alimu ekiriisa kya ‘Zinc’ ekiyambako mu kukola ekirungo ky’abasajja ekya ‘testosterone’ nga kino ky’ekivunaanyizibwa mukukola ebitundu by’omusajja.
Ebikoola Bya Spinach Nga Bwe Bifaanana
Era ‘testosterone’ kiyambako mu kulongoosa enkwaso z’abasajja ne zibeera za mutindo n’osobola okuzaala. Spinach alimu n’ekirungo kya ‘magnesium’, ekiyambako ebinywa
okuguma ate era ne bibeera nga bikola bulungi emirimu gyabyo, wano n’ebitundu by’omusajja we bigwa ekimuyamba okutuukiriza obulungi emirimu gye.
Spinach ayongera okutuwa ebirungo bya ‘nitrates’ nga bino biyamba okutambuza obulungi omusaayi ne gutuuka mu bitundu by’omubiri byonna nga mw’otwalidde n’obusajja.
Spinach aleeta ‘Vitamiini B6’, ne ‘Vitamiini B2’ ebiyamba okukola amaanyi mu mubiri nga gano geetaagisa mu mirimu gyonna omusajja gy’akola