Loozimeere kabeera kati k’osimba awaka wo era akajjudde emigaso bangi gye batamanyi. Kabeerako obukoola bwa kiragala nga butono ddala wabula nga kalina akawoowo era bangi bakateeka ku caayi.
Nga tusemberera ennaku enkulu, olw’emigaso enjolo egya Loozimeere atamulina awaka wangimuguze n’omwekuumisa n’okumukozesa olw’emigaso gy’alina.
Omumbejja Mariam Nakalema ajjanjabisa eddagala ly’obutonde, agamba nti, Rosemary omuteeka ku caayi oba okumukolamu ensaano era nayo n’ogiteeka mu by’okunywa oba mu mmere n’enva.
Era osobola okukozesa butto wa Rosemary ne weesimuula n’oganyulwa mu mbeera zino wammanga :
1 Atangira obutafuna ndwadde ez’enjawulo olw’ekirungo ky’alina ekitta obuwuka obuvaako endwadde ezisinga obungi.
2 Abakyala abaziyiza okukutula enviiri olw’ekirungo ekimulimu ate n’okuziyiza ekiwalaata mu basajja.
3 Akkakkanya puleesa eya wansi n’eya waggulu singa omutabula ku caayi n’emmere gy’olya.
4 Ayamba okujjanjaba ebinywa n’omubiri gwonna nga kiva ku bukoowu n’endwadde ez’enjawulo.
5 Abalina emimwa emimyufu ayambako okugitereeza ne gidda mu langi yaagyo n’okugitangira okumyuka ate ayamba n’okuwonya amabwa g’omu kamwa.
6 Akkakkanya ebirowoozo
7 Ayambako okutereeza enkola y’omubiri naddala abakyala abalwa mu nsonga n’abatagendamu.
8 Rosemary ayamba okuwagala obwongo eri emyaka gyonna.
9 Olw’okuba tugenda mu manzaali ga Ssekukkuku ayamba okuggya obutwa mu mubiri obumu obuva ku mmere gy’olidde mu bugenderevu n’obutali bugenderevu. Ofuna ensaano n’onywera ku caayi oba okumufumbisa emmere naddala ey’omuceere.
10 Rosemary era awoomesa emmere olw’akawoowo akamulimu akakwagazisa okulwa ne bw’oba mulwadde.