Kino kimuyamba bw’atuuka okutunda ebirime mu katale. Drake Kavuma, ku kyalo Ssala mu gombolola y’e Wakiso yasalawo kulima ekirime kya loozimeere olw’ensonga nti akatale ke weekali nga tasobola kufuna kizibu kya bbula lya katale.
Kavuma ng'ali ne ffamire ye mu nnimiro ya loozimeere.
Ono loozimeere amulimira ku yiika bbiri era nga n’okumwemerereza y’amwemerereza.
Ono agamba nti yasalwo okumulima olw’emigaso emingi egimufumbekeddemu omuli okuvaamu akawoowo akalungi n’okumwongerako omutindo okumuggyamu ebintu ebirala