Empaka z'Ebika bya Buganda zikomyewo: Engo ewera kutaagula Mbwa

Empaka z'ebika bya Baganda zikomyewo olwaleero nga Engo ettunka n'Embwa mu mupiira oguggulawo mu kisaawe ky'e Kasana e Luweero.

Empaka z'Ebika bya Buganda zikomyewo: Engo ewera kutaagula Mbwa
By Moses Kigongo
Journalists @New Vision

Bika bya Baganda.

Ngo - Mbwa 9:000

Empaka zino zibadde zimaze emyaka 2 nga tezizannyibwa olw'ekirwadde kya COVID-19 ekyagootaanya buli kimu okuva mu mwaka gwa 2020.

Kabaka asiimye okulabikako eri Obuganda ng'aggulawo empaka zino olwaleero (Lwamukaaga) mu ssaza lye e Bulemeezi.

Bazzukulu ba Muteesasira (Abengo) n'aba Muteesasira (Abembwa) baasuze bulindaala nga beetegekera omupiira gwa leero.

Ttiimu Ye Mbogo Eyawangudde Engabo.(1)

Ttiimu Ye Mbogo Eyawangudde Engabo.(1)

Kabaka asuubirwa okutuuka ku ssaawa 8:20 ez'emisana ayanirizibwe abakungu b'e Mmengo abanaakulemberwa Katikkiro Charels Peter Mayiga n'abakungu b'olukiiko olutegesi okuli; Minisita w'emizannyo Henry Ssekabembe ne ssentebe w'akakiiko akaddukanya ebika, Hajji Sulaiman Magala.

Ate ku ssaawa 9:00 omupiira guggyibweko akawuuwo oluvannyuma lwa Kabaka okuwuubira ku bawagizi n'okulambula ennyiriri z'abazannyi mu kisaawe.

Empaka z'ebika zaasemba omuzannyibwa mu 2019 era nga bazzukulu ba Kayiira (Abembogo) be bawangula Engabo oluvannyuma lw'okukuba aba Namwama (Abekkobe) ggoolo 1-0 mu kisaawe e Masaka.