Ekibalo ky'okukola Yogati alimu ebibala

17th January 2023

GWE alina amata ku ffaamu kyokka ng'akatale kaago katono, osobola okugongerako omutindo ng'okolamu yogati ekyongera ku bizinensi yo.

Akola yogati
NewVision Reporter
@NewVision
#yogati #ebibalo
13 views

Bya Sarah Zawedde

GWE alina amata ku ffaamu kyokka ng'akatale kaago katono, osobola okugongerako omutindo ng'okolamu yogati ekyongera ku bizinensi yo.

Yogati ono osobola okumukola nga mulimu sukaali oba okukozesa ebibala ebikola nga
sukaali ne langi enkolerere. Okozesa bibala nga “Beet root” ebikola langi ennungi esikiriza abamunywa. Ate omuddo oguyitibwa Stevia oguwomerere nga gwe gukola nga sukaali mu yogati.

Ekigendererwa kwewala kwongeramu langi nkolere (food colour) ne sukaali ng'akozesa
kirime kya Stevia okubeera ng'awoomerera.

ENGERI GYAKOLAMU AMATA

Ofuna amata mu kyanzi kya liita 50 ku 50,000/- okutuuka ku 65,000/-. Amata ogafumba mu ssepiki mwogatuuziza nga mulimu amazzi nga tetukozesa muliro buterevu ku 75C- 85c (degree Celsius ). Ogajjako ne gawola.

Otabulamu “Beet root” ne “Stevia “gw'osekudde ng'akenenuddwa bulungi. Oteeka mu bukopo n'osiibako akapapula akasiriva ng'okozesa okusobola okunywera obulungi.

Otunda ku bbeeyi wakati wa 1,000/- -30,000/- okusinziira ku sayizi. Ekyanzi kya liita 50 osobola okukijjamu 70,000/- okutuuka ku 80,000/-.

Omukuumira mu firiigi oba okumutereka ku sementi ng'amala omwezi nga tayonoonese.

Biwandikiddwa  okuva ku Don Katumba owa kkampuni ya Katall Kinkiiza Dairy Enterprises ekola yogati wa “Beet Fresh Yogurt” e Mbarara

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.