MOSES Oucho,57, ow’e Nsangi aleeanya n’amagulu lwa katulututtu akaatandikira ku kakongovvule k’okugulu okwa kkono.
Waayita ennaku mbale n’okwa ddyo ne kukwatibwa. Kati emyezi musanvu nga Oucho apooca n’obulumi. Agamba nti, abunye amalwaliro nga ne Kkulu e Mulago yamalayo emyezi esatu kyokka obulwadde bukyabuze.
Abakugu bakkaanya nti, okubula kw’obulwadde kuyinza okuva ku mulwadde, ku musawo akebera, ebyuma ebyeyambisibwa oba obulwadde bwennyini okwekweka.
OBULWADDE LWE BWEKWEKA
Dr. Stephen Lwanga okuva kuAkharmuh Health Centre m Ndeeba, agamba nti, kiyinza
okuva ku:
Ekirwadde kiyinza okuba ekipya nga tewannabaawo byuma bikiraba mangu, ate oluusi nga kirina obubonero obufaanagana n’obw’obulwadde obulala.
Obuwuka bw’obulwadde obumu buba n’enkola y’okukyukakyuka ng’ebyuma tebyanguyirwa kubuzuula.
ABASAWO LWE BAVAAKO OBULWADDE OKUBULA
1 Enkuuma y’ebikozesebwa : Ebyuma ebikebera obulwadde birina embeera y’ebifo ennambike mwe birina okukuumirwa. Ebyuma ebirina okukuumirwa mu bifo ebitaliimu bbugumu bwe bikuumirwa mwe liri biyinza obutakola mulimu mu butuufu bwagwo.
OMULWADDE LW’AVAAKO OBULWADDE OKUBULA
Dr. Brian Arinaitwe owa AAYAA LIFE CARE mu Ndeeba, agamba nti, ekimu ku by’obulabe era ekivaako obulwadde okubula z’ensobi ezikolebwa omulwadde yennyini, okuli:
1 Okunnyonnyola entandikwa y’obulwadde : Omulwadde atajjukira bulungi ngeri bulwadde gye bwamulumbamu
ayinza okuvaako obulwadde okubula. Omuntu ateekwa okulunda omubiri gwe nga
ekituuka ku mubiri gwe amanya kwe kivudde n’engeri gye kitandise.
2 Omulwadde okwewandiikira eddagala : Kya bulabe omulwadde okweteeka ku ddagala eritamulagiddwa musawo mukugu. Eddagala erimu likonya obulwadde oba okuleetera obuwuka okwekweka ebyuma ne bitasobola kuzuula bulwadde.
3 Omulwadde okukozesa ekika ky’eddagala ku lunaku lw’agenda okukeberwa. Obulwadde obumu bubula okumala akabanga singa omulwadde agenda okumukebera ng’amize oba okunywa ekika ky’eddagala ekitamulagiddwa musawo. Kisaanye ogoberere amateeka g’omusawo osobole okuyambibwa. 4 Omulwadde obutajjukira bizze bituuka ku mubiri gwe : Endwadde ezimu zitandika mu ngeri nga nnyini mubiri yekka (omulwadde) y’alina okugimanya. Ekifuba kiyinza okuluma omuntu ate nga mu
bukugu bw’ekisawo kirina kye kiranga kyokka omulwadden’atakibuulira musawo ow’obutakijjukira.
5 Omulwadde okuva ku biragiro by’abasawo : Omulwadde eyagaanibwa okunywa omwenge oba ekirala kyonna ayinza okukikozesa ne kibuza obulwadde. Abasawobagamba nti, tekitera kubaawo endwadde okubula, era ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna ekya World Health Organisation n’ebirala bakola butaweera, era okuwulira ku kirwadde ekipya basitukiramu nga bwe kyali ku bulwadde bwa COVID 19.
BAWADDE ABALWADDE AMAGEZI
Dr. Lwanga agamba nti, obulwadde obuzuulwa nga tebumanyiddwa butera okutuumibwa amannya agalina akakwate n’abazuula eddagala oba ekirala. Awa eky’okulabirako kya COVID 19 nti, bwatandika okumanyibwa mu mwaka 2019.