ABANTU bangi ensangi zino bettanidde nnyo okulunda embwa n’ekigendererwa eky’okuzikozesa ng’ebyokwerinda naddala mu maka gaabwe wamu ne mu bizinensi olw’okusomoozebwa kwebafunye mu bakuumi ab’enjawulo ng’abamu ate beekobaana n’ababbi nebatuusa obulabe ku bakama babwe.
Kino kitegeeza nti obwetaavu bw’embwa bweyongedde mu Ggwanga era abantu abajagujagu bettanidde okuzirunda era batandise Nnokuzifuniramu ddala ssente.
Omu ku bantu abatadde amaanyi mu mulimu guno ye Shalif Ssemwanga kyokka nga bangi bamumanyi nga ‘Uncle Dogs’. Ono mutuuze ku kyalo Buwaate ekisangibwa mu Munisipaali ye Kira mu Disitulikiti ye Wakiso. Ssemwanga agamba nti okuva obuto yakula ayagala nnyo embwa ate ng’ali kumpi n’ekifo wezirabirira ku Mawanda Road e Kamwokya.

Ssemwanga ng'ali n'emu ku mbwa ze

Ssemwanga ng'atendeka embwa ze obuwulize
Ssemwanga agamba nti omuntu yenna ayagala okufuna ssente eziwera yeekwate omulimu gw’okulunda embwa kubanga ekibwa ekito ezizungu osobola okukitunda ssente ezisukka mu 1,000,000 ate ennansi zitundibwa ssente ezisukka mu 200,000. Ekirungi ekirala ekiri ku kulunda embwa kiri nti tewetaaga kifo kinene kuzirunda ng’omulimu guno osobola okugutandikira awaka kasita obufuna obuyumba obw’omulembe mw’ozirundira, endyo ennungi ate n’omanya n’endiisa yaazo.

Ssemwanga ng'alaga emu ku mbwa ez'enkizo ennyo mu kwerinda mu maka

Ssemwanga ng'anaaza ezimu ku mbwa ze